1corinthians 1 Abakkolinso

1 Abakkolinso


Essuula 1

1 Paulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda,

2 eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya Lya- Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe:

3 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo.

4 Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweerwa mu Kristo Yesu;

5 kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna;

6 ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe:

7 mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo;

8 era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.

9 Katonda mwesigwa, eyabayisa okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe:

10 Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawakana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.

11 Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe.

12 Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; aange wa Keefa; nange wa Kristo:

13 Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? oba mwabatizibwa okuyingira mu lianya lya Pawulo?

14 Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo;

15 omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabarizibwa okuyingira mu linnya lyange:

16 Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana: nate simanyi nga nnabatiza omulala yenna.

17 Kubanga; Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira. Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaaba gwa Knsto; gulemenga okuba ogw'obwereere:

18 Kubanga ekigambo eky'omusaalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokebwa ge maanyi ga Katonda.

19 Kubanga kyawandiikibwa nti. Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.

20 Omugezigezi aluwa? omuwaadiisi aluwa? omuwakanyi ow'omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi?

21 Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza.

22 Kubanga. Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banooaya amagezi:

23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;

24 naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda.

25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi:

27 naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi;

28 n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo:

29 omu biri gwonna gulemenga okwenyu miriza mu maaso ga Katonda.

30 Naye ku bw'oyo mmwe muli mi Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gy, tuli okuva eri Katonda, era n'obu tuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:

31 nga bwe kyawandiikibwa nti Eyeenyumiriza, yeenyu miririzenga mu Mukama.



Essuula 2

1 Nange, ab'oluganda, bwe nnajj: h, gye mu, sajja na maanyi ma. ngi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,

2 Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa.

3 Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi.

4 N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:

5 okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.

6 Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakuiu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo:

7 naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe:

8 abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba sings, baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa:

9 naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga- mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.

10 Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.

11 Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntn oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.

12 Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa.

13 N'okwogera twogera ebyo, si-mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe rugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.

14 Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kabitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.

15 Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, aaye ye yennyini takeberwa muntu yenna.

16 Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo.



Essuula 3

1 Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaaua abawere mu Kristo.

2 Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza;

3 kubainga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuatu? 4

4 Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; u'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu?

5 Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.

6 Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.

7 Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Kaonda akuza.

8 Naye asiga n'ajfukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba.

9 Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

10 Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.

11 Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo.

12 Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro;

13 omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muatu bwe gufaanana.

14 Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera.

15 Omulimu ogwa buii muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.

16 Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?

17 Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe:

18 Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe giao, sfuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.

19 Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe:

20 era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.

21 Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonaa byammwe;

22 oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe;

23 nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.



Essuula 4

1 Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda:

2 Era wano kigwanira abawanika, omuatu okulabikanga nga mwesigwa.

3 Naye ku nze kigambo kitoao nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange azekka sseesalira musango:

4 Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe.

5 Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonaa, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.

6 Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.

7 Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?

8 Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.

9 Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa. enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu.

10 Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa:

11 Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;

12 era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa; tugumiikiriza;

13 bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi; empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.

14 Ebyo ssibiwandiika kubakwasa nsonyi, wabula okubabuutirira ng'abaana bange abaagalwa.

15 Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu:

16 Kyeava mbeegayirira okungohereranga:

17 Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesi.gwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa:

18 Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli.

19 Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si kigambo kyabwe.

20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maanyi:

21 Mwagalako ki? njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?



Essuula 5

1 N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kifaawe.

2 Nammwe mwegulumizizza; so femwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.

3 Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,

4 mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,

5 okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gutokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.

6 Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?

7 Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubaaga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:

8 kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.

9 Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;

10 so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi:

11 naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenaa ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga azwenzi, oba mwegombi, oba: asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye:

12 Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?

13 Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.



Essuula 6

1 Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali baruukirivu, so si eri abatukuvu?

2 Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi mmwe muligisalira omusango, emusaanira kusala nsonga entono ennyo.

3 Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? tulirema. tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?

4 Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo?

5 Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,

6 naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza?

7 Naye era bwe mutyo mumaze okubaako: akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka: Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?

8 Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaa maanya, era n'ab'oluganda.

9 Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa. Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,

10 newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa; Katonda.

11 Era abamu ku nunwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.

12 Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.

13 Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiti:

14 era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.

15 Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebituadu bya Kristo mbifuule bitundu by'amwenzi? Kitalo.

16 Oba temumNaye eyeegatta ne Mukama waffe gwe mwoyo gumu: anyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu.

17 Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kin kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye:

18 Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe;

19 kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.



Essuula 7

1 Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.

2 Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye:

3 Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja.

4 Amukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.

5 Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbaaga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.

6 Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka

7 Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze: Naye buli muntu alina ekirabo kye.ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati:

8 Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze:

9 Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okuinga okwakanga.

10 Naye abaaiala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, mukazi obutanobanga ku musajja we

11 (naye okunoba bw'anobanga, beerenga awo obutafumbirwanga, ba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.

12 Naye abalala mba amba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'aabagananga naye okubeera naye, Bamulekangayo.

13 N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza; aye: bw'atabagananga naye okubeea naye, tanobanga ku musajja we.

14 Kubanga omusajja atakkiriza atuuzibwa na mukazi, n'omukazi atakiriza atukuzibwa na wa luganda: inga tekiri bwe kityo, abaana basmwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.

15 Naye atakkiriza bw'ayawukananga: ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mkazi tali mu buddu mu bigambo biri bwe bityo: naye Katonda yaayitira mirembe.

16 Kubanga, gwe omukazi; omanyi otya nga blirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga toliroola mukazi wo?

17 Kino kyokka, uli muntu nga Mukama waffe bwe amugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga w'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna.

18 Omuntu ennayayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Imuntu yenna yayitibwa nga si mkomole? Takomolebwanga.

19 Okukomolwa si kintu n'obuikomolwa si kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.

20 Buli muntu abeerenga mu kuyibwa kwe yayitirwamu:

21 Wayibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiiranga: naye okuyinza bw'oyinzaga okuweebwa eddembe, waakiri beerenga nalyo.

22 Kubanga mu lukama waffe eyayitibwa nga mudu, aweebwa Mukama waffe eddeabe: bw'atyo eyayitibwa nga wa dembe ye muddu wa Kristo.

23 Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu:

24 Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda.

25 Naye ku by'obatafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.

26

27 Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi:

28 Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwaia bw'afumbirwanga; nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira.

29 Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:

30 era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n’abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina;

31 n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.

32 Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe:

33 naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.

34 Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafiumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.

35 Njogedde ekyo olw'okubagasa nunwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga:

36 Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; liafumbiriganwe.

37 Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi.

38 Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi.

39 Omukazi asibibwa musajja: we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.

40 Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda:



Essuula 8

1 Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.

2 Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;

3 naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.

4 Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu.

5 Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi;

6 naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waf£e omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawa ffe:

7 Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala; kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi:

8 Naye ekpokulya tekitusii'misa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako.

9 Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abaaafu.

10 Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?

11 Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira.

12 Era bwe kityo, hwe mwonoonanga ab'oluganda era ne muftimita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo.

13 Kale, eba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.



Essuula 9

1 Ssiri wa ddembe? ssirimutume? ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe?

2 Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe: kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe.

3 Bwe mpoza bwe ati eri abo abankemereza.

4 Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga?

5 Tetiilina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa.

6 Oba nze nzekka ne Balunabba tetulina buyinza obutakolanga mirimu?

7 An.i agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?

8 Ebyo ajogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo?

9 Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa ati Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte?

10 oba ayogera ku Iwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima lumngwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.

11 Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?

12 Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza bYonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo.

13 Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?

14 Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuuiira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.

15 Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebya kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuatu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.

16 Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.

17 Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika.

18 Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri.

19 Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi.

20 N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya; nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;

21 eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpuiira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.

22 Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna.nfuuse byonna, mu byonna byonfla adyoke ndokolenga abamu.

23 Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.

24 Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe.

25 Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka.

26 Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga:

27 naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga maze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.



Essuula 10

1 Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja;

2 era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; 3

3 era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo:

4 kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo.

5 Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu.

6 Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba.

7 So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.

8 Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku luaaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu.

9 Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta.

10 Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.

11 Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe.

12 Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.

13 Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukira; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza,

14 Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi.

15 Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera.

16 Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo?

17 kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.

18 Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto?

19 Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?

20 Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abassee kimu ne balubaale.

21 Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale.

22 Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi?

23 Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna.

24 Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.

25 Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;

26 kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.

27 Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;

28 Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oya abuulidde, n'olw'omwoyo:

29 bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?

30 Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza?

31 Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.

32 Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katouda:

33 era nga nange bwe nsanya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke.



Essuula 11

1 Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonaa, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa.

2 Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n'omutwe gwa Kristo ye Katonda.

3 Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.

4 Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe.

5 Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa.

6 Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako.

7 Kubanga omusajja tekimugwanira kubakkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja.

8 Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja:

9 era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja:

10 kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika.

11 Era naye omukazi tabeerawo awatali musajja, era omusajja tabeerawo awatali mukazi, mu Mukama waffe.

12 Kuba omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda:

13 Musale omusango nammwe mwekka: kisaana omukazi asabenga Katonda nga tabikkiddwako?

14 Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza?

15 Naye omukazi bw'akuza enviiri; kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo.

16 Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda.

17 Naye bwe mbalagira kino ssibatendereza, kabanga temukŋŋaana lwa bulungi wabula olw'obubi.

18 Kabanga eky'olubereberye, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe; era nkikkirizaamu.

19 Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubanga mu mmwe, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe.

20 Kale bwe mukuŋŋaanira awamu, tekiyinzika kulya mmere ya Mukama waffe:

21 kubanga mu kulya kwammwe buli muntu asooka munne okutoola emmere ye yekka; n'omulala alumwa enjala, n'omulala atamiira.

22 Kiki ekyo? temulina nnyumba za kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina nnyumba? Nnaabagamba ntya? nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza.

23 Kubanga nze nnaweebwa eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati;

24 ne yeebaza, n'agumenyamu, n'ayogera nti mukolenga nti gwange n'ekikompe valign="TOP" nze. Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw'o kunjijukiranga nze.

26 Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja.

27 Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati aba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.

28 Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe.

29 Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe ye, bw'atayawula mubiri.

30 Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangiko abeebaka:

31 Naye singa twesalira omusango ffekka, tetwandisaliddwa musango.

32 Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waffe, mueme akusingibwa omusango awamu n’ensi:

33 Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋgaananga okulya, mulindaganenga.

34 Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.



Essuula 12

1 Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera:

2 Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna.

3 Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.

4 Naye waliwo enjawulo z'ebira bo, naye Omwoyo ali omu.

5 Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu.

6 Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bona.

7 Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa.

8 Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo:

9 omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omutala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu;

10 n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omula]a engeri z'ennimi; n'omulata okuvvuunuzanga ennimi:

11 naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.

12 Kuba omubiri nga bwe guli' ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.

13 Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.

14 Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.

15 Ekigere bwe kyogera nti Kubaaga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri.

16 Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri.

17 Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonaa singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa?

18 Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kitmakimu mu mubiri, nga bwe yayagala.

19 Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa?

20 Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.

21 N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti Ggwe sikwetaaga: oba nate omutwe okugamba ebigere nti Mmwe sibeetaaga.

22 Naye, ekisinga eanyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa:

23 n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo, bye twambaza ekitaibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye bisinga okubeera n'obulungi;

24 naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi;

25 walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.

26 Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabanera wamu nakyo; oba ekitundu ek~mu bwe kigulumizibwa, ebituadu byonna bisanyukira wamu nakyo:

27 Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.

28 Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusaru bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.

29 Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero?

30 bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula?

31 Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu: Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi.



Essuula 13

1 Bwe njogera n'enaimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala.

2 Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo- ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.

3 Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza.

4 Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza

5 tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo;

6 tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima;

7 kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriziza byonna.

8 Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.

9 Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu:

10 naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo.

11 Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto:

12 Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.

13 Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsntule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.



Essuula 14

1 Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga.

2 Kubanga ayogera oiulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama.

3 Naye abuulira ayogera eri abantu ebizimba, n'ebisanyusa, n'ebigumya.

4 Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa.

5 Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe.

6 Naye kaakano; ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza?

7 Era n'ebitali biramu, ebireeta, eddoboozi; oba ndere, oba nnanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuyibwa oba ekikubibwa?

8 Kubanga n'akagombg bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana?

9 Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kuanga mulyogerera mu bbanga.

10 Mpozzi waliwo mu nsi engeri 'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri terina makulu.

11 Kale bwe ssiianya makulu ga ddoboozi, ndibeera g'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo yogera alibeera ng'ajoboja eri nze.

12 Bwe mutyo nammwe, kubanga awegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba kkanisa.

13 Kale ayogera olulimi sabenga ategeezenga:

14 Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo wange gusaba, naye amagezi gange egabala bibala.

15 Kale kiki? nnaaabyanga omwoyo, era nnaasabyaga n'amagezi, nnaayimbyanga mwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi.

16 Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo y'oyo atamanyi anaddangamu atya tti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?

17 Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye mulala tazimbibwa.

18 Nneebaza Katonda; mbasinga mwenna okwoera ennimi;

19 naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaao n'amagezi gange, ndyoke njiirizenga n'abalala, okusinga ebiambo akakumi mu lulimi obulimi.

20 Ab'oluganda, temubanga baaa bato mu magezi: naye mu ttima mbeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.

21 Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era ewakubadde bwe kityo tebalimpura, bw'ayogera Mukama:

22 Ennimi kyeziva zibeera akaonero, si eri abo abakkiriza, waula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatalariza wabula eri abakkiriza.

23 Kale ekkanisa yonna bw'eba g'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne oagera ennimi, ne wayingira abamumanyi oba abatakkiriza, tebaliamba nti mulaluse?

24 Naye bona bwe babuulira, ne wayingira takkiriza oba atamanyi, anenyeebwa bonna, asalirwa bonna omuango;

25 ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo livuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.

26 Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba.

27 Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga:

28 naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda.

29 Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga.

30 Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga.

31 Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga;

32 n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi;

33 kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu.

34 Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye ba bafugubwenga, era nga n'amateeka bwe googera.

35 Era bwe baagalanga okuiyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.

36 Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka?

37 Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe:

38 Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.

39 Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi:

40 Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.



Essuula 15

1 Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye, munywereramu,

2 era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.

3 Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;

4 era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;

5 era nga palabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri;

6 n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka;

7 n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna;

8 era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole.

9 Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.

10 Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si aze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.

11 Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.

12 Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu?

13 Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa;

14 era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu.

15 Era naye tulabika ag'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'a bafu tebazuukizibwa.

16 Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa:

17 era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe.

18 Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula.

19 Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna:

20 Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka.

21 Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.

22 Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Y,risto mu kujja kwe.

24 Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.

25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye.

26 Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.

27 Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.

28 Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.

29 Kubanga balikola batya ababatizibwa ku Iw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?

30 Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera?

31 Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe.

32 Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya.

33 Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi.

34 Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi.

35 Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo?

36 Mu sirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa:

37 ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala;

38 naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka.

39 Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja.

40 Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala.

41 Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'eldtiibwa ly'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.

42 Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:

43 gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi:

44 gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.

45 Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. fldamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguieeta obulamu.

46 Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo.

47 Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu.

48 Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bah bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali; era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo.

49 ra nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.

50 Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda. tekusikira butavunda:

51 Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa,

52 mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.

53 Kubanga oguvunda guno,kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.

54 Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula.

55 Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?

56 Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka:

57 naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

58 Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.



Essuula 16

1 Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.

2 Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.

3 Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi:

4 era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange.

5 Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni:

6 naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.

7 Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza.

8 Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote;

9 kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi.

10 Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze:

11 kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'olu ganda.

12 Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.

13 Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.

14 Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.

15 Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu),

16 nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba.

17 Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza.

18 Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo.

19 Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.

20 Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.

21 Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange.

22 Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja.

23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

24 Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE