2 Abakkolinso


Essuula 1

1 Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkariisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna:

2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.

3 Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;

4 atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.

5 Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo aga bwe byeyongera ennyo gye tuli, era bwe kutyo n'okusanyusibwa kwaffe kweyongera nnyo ku bwa Kristo.

6 Naye bwe rubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusaayusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebiboayoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa:

7 era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tamanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoo bonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.

8 Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tut asuubira kuba balamu:

9 era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu:

10 eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya;

11 era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe.

12 Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe.

13 Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musoma era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga munaabyatulanga okutuusa enkomerero:

14 nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.

15 Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri;

16 n'okuyita gye muli okugenda e Makedoni, n'okuva nate e Makedoni okujja gye muli, n'okusibirirwa mmwe okugenda e Buyudaaya.

17 Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye ateesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18 Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti ati weewaawo ate nti si weewaawo.

19 Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo.

20 Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.

21 Naye. atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda;

22 era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe.

23 Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.

24 Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza kwe kubayimiriza.



Essuula 2

1 Naye kino nnakimalirira mu mwoyo gwange, obutajja nate na nnaku gye muli.

2 Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza?

3 N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essaayu lyange lye lyammwe mwenna,

4 Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa ku banakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi enyo:

5 Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, abatanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo:

6 Kunaamumala ali bw'atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi;

7 kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa, afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa enaaku ze nga ziyinze obungi.

8 Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala eri oyo.

9 Kubanga era kyennava mpandiika; ndyoke ntegeere okukemebwa kwammwe, oba nga muwulira mu bigambo byonna.

10 Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye asonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo;

11 Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.

12 Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,

13 ssaalaba kuwummula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito muganda wange: naye ne mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni:

14 Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangulwa mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo,

15 Kubanga tuli vvumbe ddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu bo ababula;

16 eri abo ababula a tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?

17 Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi ofwamambo kya Katonda: mu maaso naye olwa Katonda, mu ga Katonda bwe tutyo bwe twogera mu Kristo.



Essuula 3

1 Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri jnmwe, oba eziva gye muli?

2 Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, basoma; .

3 nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande mitima egy'omubiri

4 Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo:

5 si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowoona ekigambo kulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda

6 era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga nnukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.

7 Naye oba okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, amayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo:

8 okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa?

9 Kuba oba kitiibwa eereza okw'omusango kye ng’okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza kitiibwa.

10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo.

11 Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa.

12 Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi

13 so si nga Musa eyeebi kkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo:

14 naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.

15 Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.

16 Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.

17 Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.

18 Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso, gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri' okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.



Essuula 4

1 Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira:

2 naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, aga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga tweteadereza eri omwoyo gwa buli muntu mu', maaso ga Katonda.

3 Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula:

4 katonda ow'emirembe gino be yaziba amaaso g'amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira:

5 Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.

6 Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.

7 Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe;

8 tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala:

9 tuyiggayizibwa, naye tetulekebwa; tumegebwa, naye tetuzikirira;

10 bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era 'obulamu bwa Yesu bulyoke bulaisibwenga mu mnbiri gwaffe.

11 Kubanga ffe abalamu tuweebwaa ennaku zonna eri okufa okutumga Yesu, era n'obulamu bwa 'esu bulyoke bulabisibwenga mu mbiri gwaffe ogufa.

12 Bwe kiyo okufa kukolera mu ffe, naye bulamu mu mmwe.

13 Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiiza, kyennava ajogera era naffe ukkiriza, era kyetuva twogera;

14 nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza 4ukama waffe Yesu, era naffe lituzuukiza wamu ne Yesu, era litwanjulira wamu nammwe.

15 Kubanga byonna biri ku bwanmwe, ekisa ekyo bwe kyeyoagera dw'abangi kiryoke kyongezeagakwebaza Katonda aweebwe ekiiibwa.

16 Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungutu ng'aggwaawo, naye muatu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.

17 Kubanga okubonaabona kwaffe okuazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, wongerayongera nnyo okutukolera kidibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;

18 ffe nga tetutuauuira ebirabika, wabula ebitalabika: nbanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.



Essuula 5

1 Kubanga tumanyi ati, oba ng'e kubanga nnyumba yaffe ey'ensiisira ey'onu nsi eryabizibwa, tulina eryazinbibwa tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba taazimbibwa na mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu ggulu.

2 Kubanga tusindira mu eno, nga wegomba okwambazibwa ennyunba yaffe eriva mu ggulu:

3 bwe ulyambazibwa, mpozzi tuleme okwangibwa nga tuli bwereere: 4

4 Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambuta, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu.

5 Naye eyaukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa omusingo ogw'Omwoyo.

6 Kyetuva tuguma omwoyo ennaku zonna, era tumanya nga bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe

7 (kubanga tutambula olw'okukkiriza, si lwa kulaba);

8 tuguma omwoyo, era kino kye tusinga okwagala, okuba ewala omubiri n'okubeera Mukama waffe gy'ali.

9 Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye.

10 Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.

11 Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe.

12 Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okweayumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeeayumiriza mu maaso, so si mu mutima.

13 Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri mmwe.

14 Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa;

15 naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira.

16 Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo.

17 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.

18 Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n'atuwa ffe okuweereza okw'okutabaganya; nti

19 Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya.

20 Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda.

21 Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.



Essuula 6

1 Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda

2 (kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):

3 nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa;

4 naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,

5 mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba;

6 mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi;

7 mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; lolw'ebyokuiwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono,

8 olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima;

9 ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa;

10 ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.

11 Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaff'e gugaziye.

12 Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe.

13 Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe.

14 Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?

15 Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkirizal n'atali mukkiriza?

16 Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda b,We yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.

17 Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.

18 Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.



Essuula 7

1 Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo,abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

2 Mutukkirize: tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muatu yenna:

3 Soogedde ku banenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.

4 Njogera n'obuvumu bungi eri mmwe, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe: njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna.

5 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.

6 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.

7 so si lwa kujja kwe kwokka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusibwa mu mmwe, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka.

8 Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubangandabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera.

9 Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.

10 Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa.

11 Kubanga, laba; okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba lokungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era a'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.

12 Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi; newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.

13 Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo. gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna.

14 Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima:

15 N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli; ng'aljukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.

16 Nsanyuse kubanga mu byonna nguma omwoyo mu mmwe.



Essuula 8

1 Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni;

2 mu kubonaabona okwabakema etmyo essanyu lyabwe eryasukkirira,. n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe.

3 Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwa,

4 nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okussa ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu;

5 so si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda.

6 Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli.

7 Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo.

8 Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula olw'okufuba kw'abalala nga nkema okwagala kwammwe nga kwa mazima.

9 Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.

10 Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu.

11 Naye kaakano mutuukirize n'okukola; nga bwe waaliwo okwagala amangu, era n'okutuukiriza bwe kutyo kulyoke kubeerewo, nga hwe muyinza;

12 Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina.

13 Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, na mmwe muteganyizibwe:

14 wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo:

15 nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.

16 Naye Katonda yeebazibwe, eyassa mu mutima gwe Tito okufuba okwo ku lwammwe.

17 Kubanga okukktnza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma.

18 Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kkanisa zonna;

19 so si ekyo kyokka, era so naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwa,gala kwaffe amangu:

20 nga twe'wala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza:

21 kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu.

22 Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano muayiikivu nnyo. okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe.

23 Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo:

24 Kale mubalage mu maaso g'ekkanisa ekiraga okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.



Essuula 9

1 Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:

2 kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo:

3 Naye nttama ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:

4 mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwe.balibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.

5 Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.

6 Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.

7 Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.

8 Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye mu1i mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:

9 aga bwe kyawandiikibwa nti Ye asasaanya, yagabira abaavu Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna,

10 Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:

11 nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.

12 Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo ekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;

13 kubanga olw'okukemebwa kwaaunwe mu kuweereza kuno bateadereza Katonda olw'okugonda oka okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;

14 era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:

15 Katonda yeebazibwe olw'ekirabo' kye ekitayogerekeka.



Essuula 10

1 Naye aze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzlra;

2 kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri.

3 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ku8obereranga mubiri

4 (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);

5 nga aumeaya empaka na buli kiatu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeeia kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;

6 era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira.

7 Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowonze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era na$e bwe tutyo,

8 Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi:

9 nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange:

10 Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; aaye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu:

11 Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo: bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo.

12 Kubanga tetwanijanga kwerowooza nga tuli ku muweado gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi.

13 Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli:

14 Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo:

15 nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammvee bwa kukula okuguiumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,

16 era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiiiza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese.

17 Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

18 Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza:



Essuula 11

1 Singa mungumiikirizza mu busirusiru obutono; era naye mungumiikirize.

2 Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu; ndyoke mbaleeta eri Kristo nga omuwala omulongoofu.

3 Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.

4 Kuba oyo ajja bw'abuulira Yesu omulala gwe tutaabuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba njiri ndala; gye mutakkiriza, mukola bulungi okumugumiikiriza.

5 Kubanga ndowooza nga ssisingibwa n'akatono abatume abakulu ennyo.

6 Naye newakubadde nga ndi muligo mu bigambo, naye ssiri muligo mu kutegeera; naye mu byonna twakwolesa mu bantu bonna eri mmwe.

7 Oba nnayonoona bwe nueetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira enjiri ya Katonda ey'obwereere?

8 Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera olw'okubaweereza mmwe;

9 era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo.

10 Ng'amazima ga Kristo bwe gali- mu nze, siwali: alinziyiza okwenyumiriza okwo mu asalo ez'e Yakaya.

11 Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi.

12 Naye bwe nkola, era: bwe nnaakolanga, mbaggirewo awasinziirwa abo abaagala awasinziirwa, balabike era nga ffe mu kigambo kye beenyumiririzaamu.

13 Kubanga abali ng'abo be batume-ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo.

14 So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya aga malayika ow'omusana.

15 Kale si kitalo era n'abaweeteza be bwe beefaananya ng'abaweereza: ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.

16 Njogera nate nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, naye munsembeze :ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.

17 Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza.

18 Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza.

19 Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mtnwe muli bagezigezi.

20 Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamha, bwe yeegulumiza, bw'abakuba amaaso.

21 Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna. ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma.

22 Bo Baebbulaniya? nange. Bo Baisiraeri? nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? nange.

23 Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, mu kufa emiruadi emingi.

24 Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda.

25 Emirundi esatu nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu eryato lyamenyeka, nnasula ne nsiiba mu buziba;

26 mu.kutambulanga emirundi emingi, mu bubi obw'emigga, mu bubi obw'abanyazi, mu bubi lobuva eri eggwanga lyange, mu bubi obuva eri ab'amawanga, mu bubi obw'omu kibuga, mu bubi obw'omu ddungu, mu bubi obw'omunnyanja, mu bubi obw'ab'oluganda ab'obulimba;

27 mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga: emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere.

28 Obutassaako bya bweru, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna.

29 Ani :omunafu; nange bwe ssiba munafu? ani eyeesittazibwa, nange bwe ssaaka?

30 Oba nga kirpwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange.

31 Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba.

32 Mu Ddamasiko ow’essaza owa Aleta kabaka yateega ekibuga eky'Abadamasiko, alyoke ankwate:

33 ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye.



Essuula 12

1 Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.

2 Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amaanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggutu ery'okusatu.

3 Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),

4 bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.

5 Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumisiza, wabula mu by'obunafu bwange.

6 Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.

7 N'olw'obukutu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulilswa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.

8 Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.

9 N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.

10 Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.

11 Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.

12 Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.

13 Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.

14 Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.

15 Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?

16 Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe.

17 Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?

18 Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?

19 Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.

20 Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;

21 bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.



Essuula 13

1 Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.

2 Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira;

3 kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe:

4 kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe.

5 Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa.

6 Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa:

7 Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa,'i wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.

8 Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.

9 Kubanga tusanyuka ffe: bwe tuba abanafn, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira.

10 Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme -okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.

11 Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba: Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe.

12 Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.

13 Abatukuvu bonna babalamusizza.

14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE