Luganda Hebrews Abaebbulaniya

Abaebbulaniya


Essuula 1

1 Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi,

2 mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;

3 oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'a1i, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu;

4 ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo.

5 Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe? era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga Mwana gye ndi?

6 Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.

7 Era ayogera ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro:

8 naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe a'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.

9 Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.

10 Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo:

11 Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera: N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo;

12 Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegiriggwaawo.

13 Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?

14 Bonna si gy'emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abagenda okusikira obulokozi?



Essuula 2

1 Kyekivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge tuwaba ne tubivaako.

2 Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ey'ensonga;

3 ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;

4 era Katonda ng'ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga Yekka.

5 Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako.

6 Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng'ayogera nti Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?

7 Wamukola okubulako akatono okuba nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo:

8 Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.

9 Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu.

10 Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.

11 Kubanga oyo atukuza en, n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,

12 ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.

13 Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa.

14 Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;

15 era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.

16 Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.

17 Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi by'abantu.

18 Kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.



Essuula 3

1 Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;

2 eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.

3 Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba.

4 Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimlia byonna ye Katonda.

5 Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;

6 naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero.

7 Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,

8 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa, Nga ku lunaku olw'okukemerwa mu ddungu,

9 Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana.

10 Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange;

11 Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.

12 Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw'okuva ku Katonda omulamu:

13 naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi:

14 kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tuna akwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero:

15 nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.

16 Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?

17 Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?

18 Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda?

19 Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza:



Essuula 4

1 Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.

2 Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n'abo abaawulira.

3 Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng'emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.

4 Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna;

5 era nate ne mu kino nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.

6 Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda,

7 nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.

8 Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw'ebyo.

9 Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.

10 Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng'awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye.

11 Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey'obutagonda.

12 Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.

13 So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.

14 Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe.

15 Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.

16 Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga.



Essuula 5

1 Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi:

2 ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu;

3 era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi.

4 So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni.

5 Era bw'atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe:

6 era nga bw'ayogera awalala nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.

7 Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda,

8 newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona:

9 awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;

10 Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.

11 Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu.

12 Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo.

13 Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto.

14 Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw'okugakoza okwa wulanga obulungi n'obubi.



Essuula 6

1 Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda,

2 okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo.

3 Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala.

4 Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,

5 ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,

6 ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu.

7 Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emir u, emingi, n'ebala enva ezibasaa nira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:

8 naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesii mibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.

9 Naye, abaagalwa, twetegerezzi ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulo kozi, newakubadde nga twogeddi bwe tutyo:

10 kubanga Katondo mutuukirivu tayinza kwerabira mu limu gwammwe n'okwagala kwi mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.

11 Era twagala nnyo bid muntu ku mmwe okulaganga obu. nyiikivu obwo olw'okwetegererev ddala essuubi eryo okutuusa ki nkomerero:

12 mulemenga oku. beera abagayaavu, naye abagoberers abo olw'okukkiriza n'okugumiikirizs abasikira ebyasuubizibwa.

13 Kubanga, Katonda bwe yasuu biza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka

14 ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga.

15 Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa

16 Kubanga abantu balayira asing: obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa.

17 Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka:

18 olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe;

19 lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eri tabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi.

20 Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka ka bona asinga obukulu emirembe gyo nna ng'engeri ya Merukizeddeek bw'eri.



Essuula 7

1 Kubanga Merukizeddeeki oyo kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa,

2 era Ibulayimu gwe yagabira ekitundu eky'ekkumi ekya byonna (eky'oluberereberye, mu kutegeezebwa, kabaka wa butuukirivu, era eky'okubiri, kabaka w'e Ssaalemi, ye kabaka ow'emirembe;

3 atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna,

4 Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky'ekkumi ku munyago ogw'okwebonaanya.

5 N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubadde ng'abo bava mu ntumbwe za Ibulayimu:

6 naye oyo, atabalibwa mu kika kyabwe, yasolooza Ibulayimu n'asabira omukisa nnannyini byasuubizibwa.

7 Naye, tekyegaanika n'akatono, omuto yasabirwa omukulu omukisa.

8 Era mu ekyo abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa; naye mu kiri abiweebwa ye oyo ategeezebwa nga mulamu.

9 Era, okwogera bwe kuti, ne Leevi, aweebwa omusolo, yaguweerayo mu Ibulayimu;

10 kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeideeki bwe yamusisinkana.

11 Kale okutuukirira singa kwaiwo lwa bwakabona obw'Ekileevi kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo), kiki ekyeaaza nate kabona ow'okubiri okulimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni?

12 Kubanga obwakabona bwe buwaaayisibwa, era n'amateeka tegalema kuwaanyisibwa.

13 Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo byo wa kika kirala omutavanga auntu yenna eyali aweerezza ku kyoto.

14 Kubanga kitegeerekese ga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo ya bakabona.

15 N'ebyo byeyogera nnyo okutegeerekeka, oba nga ayimuka kabona ow'okubiri ng'ekifaananyi kya Merukizeddeeki bwe kiri,

16 atalondebwa ng'amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky'omubiri, wabula ng'amaanyi bwe gali ag'obulamu obutakutuka:

17 kubanga ategeezebwa nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.

18 Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw'obunafu n'obutagasa bwakyo

19 (kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza), essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda.

20 Era bwe wataabula kulayira kirayiro

21 kubanga bo baafuulibwa bakabona awatali kirayiro; naye oyo awamu n'ekirayiro yafuulibwa oyo amwogerako nti Mukama yalayira, era talyejjusa, nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna;

22 era ne Yesu bwe yafuuka bw'atyo omuyima w'endagaano esinga obulungi.

23 Nabo bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobera okubeereranga:

24 naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, alina obwakabona obutavaawo.

25 Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.

26 Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaani.ra, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu;

27 atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.

28 Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.



Essuula 8

1 Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu,

2 omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimba, si muntu.

3 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubeera n'ekintu eky'okuwaayo.

4 Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali;

5 abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng'ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi.

6 Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi.

7 Kuba endagaano eri ey'olubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandinoonyezebbwa bbanga ery'ey'okubiri.

8 Kubanga bw'abanenya ayogera nti Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda;

9 Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajja baabwe Ku lunaku iwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne mbaleka okubalaba, bw'ayogera Mukama.

10 Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:

11 So buli muntu tebaliyigiriza munne, Na buli muntu muganda we, ng'ayogera nti Manya Mukama: Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo.

12 Kubanga ndisaasira obutali butuukiriw bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate.

13 Bw'ayogera nti Endagaano empya ey'olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n'okuggwaawo.



Essuula 9

1 Era n'endagaano ey'olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi.

2 Kubanga eweema yakolwa, ey'olubereberye eyalimu ekikondo ky'ettabaaza n'emmeeza n'emigaati egy'okulaga; awaayitibwa Awatukuvu.

3 Era ennyuma w'eggigi ery'okubiri yaliyo eweema eyitibwa Entukuvu ennyo;

4 eyalimu ekyoterezo ekya zaabu; n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano;

5 ne kungulu ku yo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu.

6 Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey'olubereberye obutayosa, nga batuukiriza emirimu egy'okuweereza;

7 naye mu eri ey'okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yekka, omulundi gumu buli mwaka, si awatali musaayi, gw'awaayo ku lulwe ye n'olw'obutamanya bw'a bantu:

8 Omwoyo Omutukuvu ng'ategeeza kino, ng'ekkubo eritwala mu kifo ekitukuvu terinnalabisibwa, ng'eweema ey'olubereberye ekyayimiriddewo;

9 eyo kye kifaananyi olw'ebiro ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne ssaddaaka ebiweebwayo ebitayinza kumutuukiriza oyo aweereza mu bigambo by'omwoyo,

10 kubanga ze mpisa ezaalagirwa ez'omubiri obubiri (era awamu n'ez'okulya n'ez'okunywa n'ez'okunaaba okutali kumu) ezaateekebwawo okutuusa ku biro eby'okudda obuggya.

11 Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno,

12 so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuw, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo.

13 Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri;

14 omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?

15 Era ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano ey'olubereberye, abayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo.

16 Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagiragaana.

17 Kubanga endagaano ey'obusika enywerera awaba okufa: kubanga yali etuukirizza ekyagiragaanyisa eyagiragaana ng'akyali mulamu?

18 Era n'endagaano ey'olubereberye kyeyava erema okusookebwa awatali musaayi.

19 Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezoobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna,

20 ng'ayogera nti Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye ya balagira.

21 Era nate eweema n'ebintu byonna eby'okuweereza n'abimansirangako omusaayi bw'atyo.

22 Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

23 Kale ebifaananyi by'ebye eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo.

24 Kubanga Kristo teyayingira mu kifo eki. tukuvu ekyakolebwa n'emikono ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda, ku lwaffe:

25 so si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asingE obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe;

26 kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw'ensi: naye kaakano omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alabise okuggyawo ekib: olw'okwewaayo yennyini.

27 Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango;

28 era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogvv'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi.



Essuula 10

1 Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukirize abo abazisemberera.

2 Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayoi kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.

3 Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka bul mwaka.

4 Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyako ebibi.

5 Ng'ajja mt nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omu biri;

6 Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi;

7 Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekya mpandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda

8 Bw'ayogera waggulu nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewaoyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng'amateeka bwe gali),

9 n'alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by'oyagala. Aggyawo eky'oubereberye, alyoke anyweze eky'oubiri.

10 Mu ebyo by'ayagala watukuzibwa olw'okuwaayo omuliri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.

11 Na buli kabona ayinirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaa ezitajjulukuka, ezitayinza kugyako bibi emirembe gyonna:

12 naye oyo bwe yamala okuwaayo saddaaka emu olw'ebibi okutuusa mirembe gyonna, n'alyoka atuula mu mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;

13 ng'alindirira oluvannyuna abalabe be okufuusibwa entebe y'ebigere bye.

14 Kubanga olw'ouwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza kutuusa emirembe gyonna abatu uzibwa.

15 Era n'Omwoyo Omuakuvu ye mujulirwa gye tuli: kuanga bw'amala okwogera nti

16 Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n'alyoka ayogera nti

17 N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.

18 Naye awali okuggibwako ebyo, wakyali kuwangayo ssaddaaka w'ekibi.

19 Kale ab'oluganda, bwe tulina bugumu okuyingira mu kifo ekiikuvu olw'omusaayi gwa Yesu,

20 u kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe;

21 era bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda;

22 tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkirii okutuukiridde, emitima gyaffe nga mansirwako okuggyamu omwoyo nubi, n'emibiri gyaffe nga ginaabwa n'amazzi amalungi:

23 tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe butasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa:

24 era tulowoozainenga fekka na fekka okukubiringa okwagala n'ebikolwa ebirungi;

25 obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.

26 Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo aate ssaddaaka olw'ebibi,

27 wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe.

28 Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu:

29 mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyeakana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaaao ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa?

30 Kubanga tumumaayi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omu sango abantu be.

31 Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.

32 Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw'ebibonoobono;

33 olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw'ebivume n'okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n'abo abaakolerwa ebyo.

34 Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera.

35 Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene.

36 Kubanga mwetaaga okugumiiluriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.

37 Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa.

38 Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: Era bw'addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.

39 Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw'okulokola obulamu.



Essuula 11

1 Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.

2 Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo.

3 Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.

4 Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era olw'okwo newakubadde nga yafa akyayogera.

5 Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katoada yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusumibwa Katonda:

6 era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa : kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.

7 Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katoada ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya bulungi n'asiba eryato olw'okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza.

8 Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; a'avaayo nga tamanyi gy'agenda.

9 Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo:

10 kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba.

11 Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyasuubiza yamulowooza nga mwesigwa:

12 era kyebaava bazaalibwa oyo omu era eyali ng'afudde, abali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika.

13 Abo bonna baafiiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.

14 Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka.

15 Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo.

16 Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu; Katonda kyava aletna okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga.

17 Olw'okukkiriza Ibulayimu; bwe yakemebwa, n'awaayo Isaaka; era eyaweebwa ebyasuubizibwa a'essanyu yali agenda okuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka;

18 eyagambibwa nti Mu Isaaka ezzadde lyo mwe liaaayitirwanga:

19 bwe yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi.

20 Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, era mu bigambo ebyali bigenda okujja.

21 Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe.

22 Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge.

23 Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamuleba nga mulungi; ne batarya kiragiro kya kabaka.

24 Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo;

25 ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okukira okubanga n'okwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu;

26 ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo.

27 Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika.

28 Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye aleme okubakomako.

29 Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo.

30 Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

31 Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe.

32 Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri ne bannabbi:

33 olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma,

34 be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga.

35 Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebagaaya kununutibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi:

36 n'abalala ne bakemebwa nga baduulirwa era nga bakubibwa, era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera:

37 baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala: baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi

38 (ensi beetaasaanira), nga bakyamira mu malungu ne ku nsozi ne mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi.

39 N'abo bonna bwe baamala okutegeezebwa olw'okukkiriza kwabwe, ne batafuna ekyasuubizibwa,

40 Katonda bwe yatulabira edda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.



Essuula 12

1 Kale naffe, bwe tulina olufu lw'abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe,

2 nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagutniikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.

3 Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.

4 Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n'ekibi:

5 era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;

6 Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.

7 Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?

8 Naye bwe munaabeeranga awatali kukangawulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana.

9 Nate twalina bakitaffe ab'omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne rubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu?

10 Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe.

11 Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu.

12 Kale mu gololenga emikono egirengejja, n'amaviivi agakozimba;

13 era mu kubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awoneng: buwonyi.

14 Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama

15 nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna awee buuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi;

16 walemenga okubeera omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu.

17 Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n'amaziga.

18 Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,

19 n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri:

20 kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja:

21 n'ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye:

22 naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika,

23 eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa,

24 n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri.

25 Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka:

26 eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.

27 N'ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo.

28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya:

29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.



Essuula 13

1 Okwagala ab'oluganda kubeerengawo.

2 Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi.

3 Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri.

4 Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.

5 Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono.

6 N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki?

7 Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katoada; era nga mutunuulira enkomerero y'empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.

8 Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.

9 Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n'ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.

10 Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako.

11 Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.

12 Era ne Yesu kyeyava abonabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye.

13 Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye.

14 Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja.

15 Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egya tula erinnya lye.

16 Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zisanyusa nnyo Katonda.

17 Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, ng'abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.

18 Mutusabirenga: kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna.

19 Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.

20 Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu,

21 abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga. by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.

22 Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirira: kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.

23 Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.

24 Mulamuse bonna abafuga, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza.

25 Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.




AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE