Luganda Revelation Okubikkulirwa

Okubikkulirwa


Essuula 1

1 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n'abuulirira mu malayika we ng'amutuma eri omuddu we Yokaana,

2 eyategeeza ekigambo kya Katonda n'okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba.

3 Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.

4 Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye;

5 era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;

6 n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina.

7 Laba, ajjan'ebire era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina:

8 Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.

9 Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali kizinga ekiyitibwa Parumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeeza kwa Yesu.

10 Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama ne mpul;ra ennyuma wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe,

11 nga koogera nti Nze Alufa ne Omega, era Ky'olaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n'eri Sumuna, n'eri Perugamo, n'eri Suwatira, n'eri Saadi, n'eri Fira derufiya, n'eri Lawodikiya.

12 Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe nnakyuka, ne ndaba ettabaaza musanvu eza zaabu;

13 ne wakati w'ettabaaza ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuatu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu.

14 N'omutwe gwe n'enviiri ze nga zitukula ng'ebyoya by'endiga ebitukula ng'omuzira; n'amaaso ge ng'ennimi z'omuliro;

15 n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongoosebbwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi.

16 Era ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu: ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.

17 Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere bye ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti Totya; nze w'olubereberye era ow'enkomerero,

18 era Omulamu; era nnali nfudde, era, laba, ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina. ebisutmiluzo eby'okufa n'eby'Emagombe:

19 Kale wandiika by'olabye, n'ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo;

20 ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ettabaaza omusanvu eza zaabu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'ettabaaza omusanvu ze kkanisa omusanvu.



Essuula 2

1 Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti

2 Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;

3 era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa.

4 Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye.

5 Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.

6 Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa.

7 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lustikulwa Katonda.

8 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Samuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti

9 Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuwoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.

10 Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.

11 Alina okutu awutire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.

12 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti

13 Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula.

14 Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda

15 Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kw'Abanikolayiti.

16 Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange.

17 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa, ejjinja ejjeru era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa:

18 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti

19 Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.

20 Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi.

21 Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe.

22 Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye.

23 Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.

24 Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala.

25 Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja.

26 Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga:

27 era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange;

28 era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya.

29 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.



Essuula 3

1 Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo o'musanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mannyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.

2 Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange.

3 Kale jjukira bwe waaweebwa ne bwe wawulira; okwate, weenenye. Kale bw'otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.

4 Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde.

5 Bw'atyo awangula alyambazibwa engoye enjeru; so sirisangula n'akatono linnya lye mu kitabo ky'obulamu, era adyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne mu maaso ga bamalayika be.

6 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

7 Era eri malayika ow'ekkanisa: Firaderufiya. wandiika nti bw’ati bw'ayogera oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, nti

8 Mmanyi ebikolwa byo (laba, nnateeka maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw'atayinza kuggalawo) ng'olina amaanyi matono n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange.

9 Laba, ab'omu kkuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okusinza mu maaso g'ebigere byo era ndibamanyisa nga nnakwagala

10 Kubanga weekuuma ekigabo eky'okugumiikiriza kwange, ge ndikuktuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema atuula ku nsi.

11 Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu aleme okutwala engule yo.

12 Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma na nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.

13 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.

14 Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti

15 Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma : waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.

16 Bwe kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonnyogoga so tobuguma, ndikusesema mu kamwa kange.

17 Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriikokyenneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere:

18 nkuweerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n'engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez'obwereere bwo zireme okulabika; n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.

19 Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.

20 Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.

21 Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.

22 Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.



Essuula 4

1 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ng'ayogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo.

2 Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe;

3 naye eyali atudde yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadio okulabika: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyali afaanana nga zumaliidi okulabika.

4 Entebe ey'obwakabaka yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya: ne ku ntebe kwaliko abakadde amakumi abiri mu bana nga batudde, nga bambadde engoye enjeru; ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu.

5 Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gy'emyoyo omusanvu egya Katonda;

6 ne mu maaso g'entebe ng'ennyanja ey'endabirwamu, efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma.

7 N'ekiramu eky'olubereberye kyali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka.

8 N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.

9 Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,

10 abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti

11 Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.



Essuula 5

1 Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu.

2 Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?

3 Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde warisi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira.

4 Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira:

5 omu ku bakadde n'atnamba nti Tokaaba: laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula, okwanjuluza ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu.

6 Ne ndaba wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakadde, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.

7 N'ajja n'akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe.

8 Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu bana ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu.

9 Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,

10 n'obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi.

11 Ne ndaba ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetoolodde entebe n'ebiramu n'abakadde; n'omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu ettkumi emirundi enkumi;

12 nga boogera n'eddoboozi ddene ati Asaanidde Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n'obugagga n'amagezi n'amaanyi n'ettendo n'ekitiibwa n'omukisa.

13 Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga, omukisa gubenga n'ettendo n'ekitiibwa n'amaanyi emirembe n'emirembe.

14 N'ebiramu ebina ne byogera nti Amiina. N'abakadde ne bavuunama ne basinza.



Essuula 6

1 Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu olabe.

2 Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.

3 Bwe yabembula akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti Jjangu olabe.

4 N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battinnane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.

5 Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu olabe. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.

6 Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona.

7 Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu olabe.

8 Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinaya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo z'ensi.

9 Bwe yabembula akabonero ak'okutaano, ne ndaba wanai w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina:

10 ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?

11 Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.

12 Bwe yabembula akabonero ek'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;

13 n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi.

14 N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.

15 ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi;

16 ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga:

17 kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?



Essuula 7

1 Oluvaanyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku asonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yo. nna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku anyanja, newakubadde ki muti gwonna.

2 Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'ayogerera wa ggulu n'eddoboozi ddene ng'agambo bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja,

3 ng'ayogera nti Temwonoona nsi, newakubadde ennyaaja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero abaddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe.

4 Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako akabonero, baali kasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaateekebwako akabonera mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri

5 Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumu mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Lewubeeni ka kumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri:

6 Ab'omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Manaase kakumi mu enkumi bbiri:

7 Ab'omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Leevi kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri:

8 Ab'omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri.

9 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli gwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ye mu maaso g'Omwana gw'endiga, ga bambadde ebyambalo ebyeru, amatabi g'enkindu mu mikono yabwe;

10 ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga.

11 Ne bamalayika onna baali bayimiridde nga beetooloodde entebe n'abakadde n'ebiamu ebina; ne bavuunama amaaso aabwe mu maaso g'entebe, ne asinza Katonda,

12 nga boogera nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'ouyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe. Amiina.

13 Omu ku bakadde n'adamu, ng'aŋŋamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?

14 Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be aava mu kubonaabona kuli okungi, e bayoza ebyambalo byabwe, ne abitukuza mu musaayi gw'Omwana w'endiga.

15 Kyebavudde babeea mu maaso g'entebe ya Katonda; e bamuweerezanga emisana n'ekiro iu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku tebe alitimba eweema ye ku bo.

16 Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omuma tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna:

17 kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.



Essuula 8

1 Bwe Yabembula akabonero ak'omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa.

2 Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.

3 Ne malayika omulala n'ajja n'ayimirira ku kyoto, ng'alina ekyotezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.

4 N'omukka gv'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda.

5 Malayika n'atwala ekyotezo; n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.

6 Ne bamalayika omusanvu abalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.

7 Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.

8 Malayika ow'okubiri n'afuuwa; ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi;

9 ne bifa ekitundu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja, ebiramu, n'r.kitundu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.

10 Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.

11 N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusaru eky'amazzi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.

12 Malayika ow,'okuna n'afuuwa, n'elutuadu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.

13 Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.



Essuula 9

1 Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.

2 N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bizikizibwa olw'omukka ogw'omu bunnya.

3 Ne mu mukka ne muva enzige ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.

4 Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.

5 Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano : n'okutuma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.

6 Ne mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka.

7 N'ebifaananyi by'enzige byafaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo ng'engule ezifaanana nga zaabu, n'amaaso gaazo ag'amaaso g'abantu.

8 Era zaalina enviiri ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma.

9 Era zaalina ebizibawo ng'ebizibawo eby'ekyuma, n'edoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo ng'eddoboozi ly'amagaali, ery'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo.

10 Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyazo mulimu obuyinza bwazo okulumira abantu emyezi etaano.

11 Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma: erinnya mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina erinnya Apoliyaani.

12 Obubi obumu buyise: laba, obubi bubiri nate bujja oluvannyuma.

13 Malayika ow'otaukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi eryava mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,

14 ng'agamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati.

15 Bamalayika abana ne basumululwa abaali bategekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.

16 N'omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi obukumi kakumi emirundi ebiri: ne mpulira omuwe ndo gwabwe.

17 Era bwe nnalaba bwe nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.

18 Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatute, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne mufiira ekitundu eky'okusatu eky'abantu.

19 Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo: kubanga emikira gyazo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye zirumisa.

20 N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula:

21 ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.



Essuula 10

1 Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjnba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;

2 era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;

3 n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.

4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.

5 Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,

6 n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:

7 naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.

8 N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.

9 Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.

10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa.

11 Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi.



Essuula 11

1 Ne mpeebwa olumuli olufaanana ng'omuggo, malayika ng'ayogera nti Golokoka, ogere yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinzizaamu.

2 N'oluggya oluli ebweru wa yeekaalu luleke ebweru, so tolugera; kubanga lwaweebwa ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikirinnyiririta emyezi amakumi ana mu ebiri.

3 Nange ndibawa abajulirwa bange babiri, era baliragulira ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu.

4 Abo gye mizeyituuni ebiri n'ettabaaza ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi.

5 Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.

6 Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu rmaku ez'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.

7 Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta.

8 N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.

9 Era ab'omu bantu n'ebika n'ennimi n'amawanga baalabira omulambo gwabwe ennaku ssatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu ntaana.

10 N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.

11 Oluvannyuma lw'ennaku ziri essatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo ne bayimirira ku bigere byabwe okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.

12 Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti Mulinnye okutuuka wano. Nga balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne babalaba.

13 Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu mu kika nkano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.

14 Obubi obw'okubiri buyise: laba, obubi obw'okusatu bujja mangu.

15 Malayika ow'omusanvu n'auuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe.

16 N'abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda,

17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.

18 Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.

19 Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.



Essuula 12

1 N'akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri;

2 era ng'ali lubuto: n'akaaba ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala.

3 Ne walabika akabonero akalala mu ggulu; era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu.

4 N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we.

5 N'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.

6 N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisisenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.

7 Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo;

8 ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu.

9 N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.

10 Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n'ekiro.

11 Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.

12 Kale musanyuke, eggulu n'abaruulamu. Zisanze ensi n'ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng'alina obusuagu bungi, ng'amanyi ng'alina akaseera katono.

13 Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.

14 Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekituadu ky'ekiseera, mu maaso g'omusota.

15 N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ng'omugga, gulyoke gttmutwaze omugga.

16 Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo.

17 Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu:



Essuula 13

1 ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi.

2 N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.

3 Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;

4 ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo?

5 n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.

6 N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu:

7 N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.

8 Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.

9 Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire.

10 Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.

11 Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalin: amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota.

12 N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa.

13 N'ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g'abantu.

14 N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu.

15 N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.

16 N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;

17 era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo.

18 Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.



Essuula 14

1 Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye aka siriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.

2 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene: n'eddoboozi lye nnawulira ng'ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe:

3 ne bayimba ng'oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi.

4 Abo be bateeyonoona eri abakazi; kubanga tebamanyanga mukazi. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'endiga.

5 Era mu kamwa kaabwe temwalabika bulimba: tebaliiko bulema.

6 Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,

7 ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.

8 Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.

9 Ne malayika omulala ow'okusaru n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,

10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga:

11 n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo.

12 Awo we wali okugumiikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu.

13 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.

14 Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi.

15 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze.

16 N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa.

17 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi.

18 Ne malsyika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.

19 Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.

20 N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.



Essuula 15

1 Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.

2 Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda.

3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe.

4 Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu birabise.

5 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa:

6 ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.

7 Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe.

8 Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu naanyi ge; so tewali muntu eyayiza okuyingira mu yeekaalu, okuuusa ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe yatuukirira.



Essuula 16

1 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu yeekaalu, nga ligaiba bamalayika omusanvu nti Muende, mufuke ebibya omusanvu by'obusungu bwa Katonda ku nsi.

2 Ow'olubereberye n'agenda, n'auka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo bbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina nkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.

3 Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omuunu ne gufa, n'ebyo ebyali mu nyanja.

4 Ow'okusatu n'afuka ekibya kye ku migga ne mu nsulo z'amazzi, e wabaawo omusaayi.

5 Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo:

6 kubanga baafuka omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw'obawadde okunywa: asaanidde.

7 Ne mpulira ekyoto ga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu yonna, gya mazima era gya nsonga nisango gyo.

8 Ow'okuna n'afuka ekibya kye u njuba; n'eweebwa okwokya abatu n'omuliro.

9 Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaayi ku bibonyoobonyo ebyo; ne ateenenya okumuwa ekitiibwa.

10 Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikiziava: ne beeruma ennimi zaabwe w'obulumi,

11 ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi vabwe n'olw'amabwa gaabwe, so beenenya mu bikolwa byabwe.

12 Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.

13 Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere:

14 kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.

15 (Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.)

16 Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Amagedoni.

17 Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa:

18 ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo Pkikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.

19 N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebituadu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.

20 Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika.

21 N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa ttatanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n'abantu ne bawoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibomyoobonyo kyagwo kinene nnyo.



Essuula 17

1 Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi;

2 bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.

3 N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyufu, ng'ejjudde amannya ag'obuwoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.

4 Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey'obwenzi bwe,

5 ne ku kyenyi kye erinny3 eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.

6 Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwowuunya kunene.

7 Malapika n'anijamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.

8 Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate eribaawo.

9 Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko;

10 era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono.

11 N'ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w'osunaana, naye ye w'oku musanvu, era agenda mu kubula.

12 N'amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.

13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza.

14 Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana Kw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa. N'annamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.

15 N'annamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.

16 N'amaye:nbe ekkimi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, batimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.

17 Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.

18 N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b'ensi.



Essuula 18

1 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye.

2 N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.

3 Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.

4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye:

5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.

6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.

7 Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.

8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.

9 Era bakabaka b'ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw'okwokebwa kwe,

10 nga bayimiridde wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.

11 N'abatunzi ab'omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe;

12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi;

13 n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu.

14 N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate.

15 Abatunzi b'ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw'entiisa y'okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala;

16 nga boogera nti Zikisanze; zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu!

17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambulawonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala,

18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw'okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene?

19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira.

20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.

21 Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja ddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti Babulooni, ekibuga eki. nene, bwe kirisuulibwa bwe kirye n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.

22 Newakubadde eddoboozi ly'abakubi b'ennanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w'emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'olubengo teririwulirwa nate mu ggwe

23 newakubadde okutangaala kw'ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi be baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa.

24 Era n'omusaayi gwa bannabbi n'abarukuvu n'ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.



Essuula 19

1 Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu; n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe:

2 kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asa.lidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.

3 Omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe.

4 N'abakadde amakumi abiri mu bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya.

5 N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.

6 Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.

7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.

8 N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno byeikolwa eby'obutuukirivu eby'abaukuvu.

9 N'aŋŋamba nti Wandiia nti Baweereddwa omukisa abaitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Onwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima bya Katonda.

10 Ne nvuunama au maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa 'esu: sinza Katonda: kubanga okuegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.

12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaa, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; ra ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.

13 Era ng'ayaibadde ekyambalo ekyamansirwako musaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda.

14 N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi.

15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'owogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.

16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng'ayimiide mu njuba; n'ayogerera waggun'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;

18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’maanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu.

19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n'eggye lyabwe nga bakuaanye okulwana n'oyo eyali atudde mbalaasi n'eggye lye.

20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaaranyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti:

21 n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.



Essuula 20

1 Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'alujegere olunene mu mukono gwe.

2 N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi,

3 n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okurmsa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.

4 Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kypyo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukuuni.

5 Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi Iwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.

6 Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.

7 Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye,

8 era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋ aanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja.

9 Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya.

10 N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezeb.vanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.

11 Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; n'ekifo kyabyo tekyalabika.

12 Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawaadiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.

13 N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.

14 N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro.



Essuula 21

1 Ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga bigenze: n'ennyanja nga tekyaliwo.

2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.

3 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe:

4 naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.

5 N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N'ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.

6 N'aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu buwa,

7 Awangula alisikira ebyo: nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.

8 Naye a bati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n’abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriiti; kwe kufa okw'okubiri.

9 Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwaaa gw'endiga.

10 N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,

11 nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasa.masa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, ng'ejjinja yasepi, eritangalijja:

12 nga kirina bbugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri; n'amannya agawandiikiddwako, ge g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri:

13 ebuvanjuba emiryango esatu; era obukiika obwa kkono emiryango esatu; era obukiika obwa ddyo emiryango esatu; era ebugwanjuba emiryango esatu.

14 Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.

15 Naye eyayogera nange yalina ekigera olumuli olwa zaabu okugera ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.

16 N'ekibuga kyenkanyankanyizibwa enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olumuli, amabanga kakumi mu enkumi bbiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwenkanankana.

17 N'agera bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mu ena, ekigera ky'omuntu, kye kya malayika.

18 N'okuzimbibwa kwa bbugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kya zaabu ennungi, ng'endabirwamu ennungi.

19 Emisingi gya bbugwe w'el:ibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'olubereberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nnawandagala;

20 ogw'okutaano sadonukisi; ogw'omukaaga sadiyo; ogw'omusanvu kerusoliso; ogw'omunaana berulo; ogw'omwenda topazi; ogw'ekkumi kerusoperaso; ogw'ekkumi n'ogumu kuwakinso; ogw'ekkumi n'ebiri amesusito.

21 N'emiryango ekkuni n'ebiri luulu kkumi na bbiri, buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu: n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ennungi, ng'endabirwamu etangalijja,

22 So ssaalabamu yeekaalu mu kyo : kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yeekaalu yaakyo.

23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga.

24 N'amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

25 N'emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono emisana (kubanga eyo ekiro tekiibengayo);

26 era balireeta ekitiibwa n'ettendo ery'amawanga mu kyo:

27 so temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga.



Essuula 22

1 Yandaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga,

2 wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga.

3 So teribaayo nate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo: n'abaddu be banaamuweerezanga,

4 era banaamulabanga amaaso ge; era erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe.

5 So teebenga kiro - nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n'omusana gw'enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirem be n'emirembe.

6 N'aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya nazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu.

7 Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino.

8 Nange Yokaana nze anawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g'ebigere bya malayika andaga bino.

9 N'aŋŋamba nti Laba tokola bw'etyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo bannabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda.

10 N'aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi.

11 Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.

12 Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.

13 Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero.

14 Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu lubuga nga bayita mu miryango.

15 Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n'akola obulimba.

16 Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya.

17 Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.

18 Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayonguangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino:

19 era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.

20 Ategeeza bino ayogera nti Weewaawo: njija mangu. Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.

21 Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu Amiina.



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE