LUGANDA – ROMANS ABARUUMI

ABARUUMI


Essuula 1

1 Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda,

2 gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandii kibwa ebitukuvu,

3 ebigambo ebyogera ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri,

4 eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe,

5 eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye;

6 era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo:

7 eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.

8 Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna.

9 Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, gwe mpeerereza mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe ajogera ku mmwe obutamala,

10 nga nneegayirira bulijjo mu busaba bwange ndyoke ntambuzibwe buluagi ne baakano, Katonda bw’ayagala, okujja gye muli.

11 Kubanga mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky'omwoyo, mulyoke munywezebwe:

12 kwe kusanyukagana awamu nammwe olw'okukkiriza kwammwe n'okwange.

13 Era, ab'oluganda, saagala muleme kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli (ne nziyizibwanga okutuusa kaakano), era ndyoke mbeereko n'ebibala mu mmwe, era nga mu mawanga amalala.

14 Abayonaani era ne bannaggwanga, ab'amagezi era n'abasirusiru, bammanja.

15 Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza.

16 Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli akkiriza okusookera Muyudaaya era n'eri Omuyomaani.

17 Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa nti Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.

18 Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;

19 kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa.

20 Kubanga bibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza:

21 kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.

22 Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,

23 ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula.

24 Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka:

25 kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.

26 Katonda kyeyava abawaaye eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne balufuula ekitali kya buzaaliranwa:

27 era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.

28 Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana;

29 nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya,

30 abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'annalala, abeenvumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe,

31 abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira:

32 abamanya omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.



Essuula 2

1 Kyova olema okube a n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'anenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo.

2 Era tumanyi ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola bwe batyo.

3 Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka: mu kunenya kwa Katonda?

4 Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?

5 Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira;

6 alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali:

7 abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi. Alibasasula obulamu obutaggwaawo:

8 naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe,

9 okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akol obubi, okusookera ku Muyudaay era ne ku Muyonaani:

10 10 naye elutiibwa n'ettendo n'emirembe ki buli akola obulungi, okusookera ki Muyudaaya era ne ku Muyonaani

11 kubanga Katonda tasosola mi bantu.

12 Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka;

13 kubanga abawulira obu wulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'ama teeka be baliweebwa obutuukirivu

14 kubanga ab'amawanga abatalin, mateeka bwe bakola mu buzaalira nwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka:

15 kubanga balaga omulimi gw'amateeka nga gwawandiikibwa; mu mitima gyabwe, omwoyo gwa bwe nga gutegeeza wamu, n’ebiro woozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka

16 ku lunaku Katonda kw'alisalir omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yes, Kristo.

17 Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka ne weenyumiririza mu Katonda

18 n'omanya by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, ng'oyigirizibwa mu mateeka,

19 ne weetegeera ggwe okubeera omusaale w'abaziba b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza,

20 omulagirizi w'abatalin magezi, omuyigiriza w'abaana abato ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka

21 kale ggwe ayigiriza omulal: teweeyigiriza wekka? abuulira obitabbanga, obba?

22 ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa

23 eyeenyumiririza mu mateeka olw'okusobya amateeka oswaza Katonda?

24 Kubanga erinnya lya Katonda liwoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.

25 Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa.

26 Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mumateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa?

27 era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, alikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennunta n'okukamolebwa?

28 Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa w'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa:

29 naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n’okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.



Essuula 3

1 Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki?

2 Kubanga nnyo mu bigambo byonna: eky'olubereberye kubanga bateresebwa Katonda bye yayogera.

3 Kubanga kiba ki abamu bwe ataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?

4 Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.

5 Naye obutali butuukirivu bwaffe we butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta busungu? (Njogera mu buntu.)

6 Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango?

7 Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa kitiibwa, nze kiki ekinsaliza omuaago nate ng'omwonoonyi

8 era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe uwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga.

9 Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya na n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi;

10 nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu;

11 Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda;

12 Bonna baakyama, baafuuka bata. saana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu;

13 Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi-w'emimwa gyabwe:

14 Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:

15 Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi; 16 Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;

16 Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;

17 So tebamanyanga kkubo lya mirembe:

18 Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.

19 Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda:

20 kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.

21 Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa;

22 bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo;

23 kubanga bonna baayonoona, ne bataruuka ku kitiibwa kya Katonda;

24 naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kiss. kye olw'okuaunulibwa okuli mu Kristo Yesu:

25 Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza;

26 okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.

27 Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza.

28 Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka.

29 Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era si Katonda wa ba mawanga? Weewaawo, era wa ba mawanga:

30 oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.

31 Kale amateeka tuga ggyawo olw'okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza.



Essuula 4

1 Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba.

2 Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.

3 Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.

4 Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja.

5 Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.

6 Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti

7 Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako.

8 Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.

9 Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.

10 Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa:

11 n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu;

12 era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

13 Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu abw'okukkiriza.

14 Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo:

15 kubanga amateeka galeeta obusu.ngu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.

16 Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna

17 (nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ngrebiriwo.

18 Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo.

19 N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde:

20 naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,

21 era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.

22 Era kyekwava kumubalirwa okuba obu tuukirivu.

23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa;

24 naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu,

25 eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.



Essuula 5

1 Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,

2 era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda.

3 So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona ku leeta Okna amiikiriza;

4 nate okugumiikinza kuleeta okukemebwa nate okukemebwa kuleeta okusuubira:

5 nate okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa.

6 Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda.

7 Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu; kubanga omulungi mpozzi omuntu aguma n'okumufiirira.

8 Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.

9 Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.

10 Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw'obulamu bwe;

11 so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana.

12 Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna,kubanga bonna baayonoona:

13 kubanga okutuusa ku mateeka ekibi kyali mu nsi: naye ekibi tekibalibwa, awataba mateeka.

14 Naye okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.

15 Naye ng'okwonoona kuli bwe kwali, era n'ekirabo tekyali bwe kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, okusinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu oli omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna abangi.

16 Era nga bwe kwajja ku bw'omu eyayonoona, ekirabo tekyali bwe kityo: kubanga omusango gwava ku omu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesa obutuukirivu.

17 Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu balifigira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo.

18 Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omisango bwe gwasinga abantu bonna bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'mu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu

19 Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafut ka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.

20 Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira ekisa ne kisinga okusukkirira

21 ng'ekibi bwe kyafugira mu kifa era n'ekisa bwe kityo kiryoke kifuga olw'obutuukirivu okuweesa obulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.



Essuula 6

1 Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?

2 Kitalo Abafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?

3 Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?

4 Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yaztialazibwa mu bafu olw'ekitii bwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.

5 Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne m kifaananyi ky'okuzuukira kwe

6 bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa. wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoka guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi;

7 ubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.

8 Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;

9 bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okui tekukyamufuga.

10 Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obnlamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.

11 Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalam eri Katonda mu Kristo Yesu.

12 Kale ekibi kiremenga okufuga nu mubiri gwammwe ogufa, okuvuliranga okwegomba kwagwo:

13 so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; aaye nwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza butuukirivu eri Katonda.

14 Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.

15 Kale tukole tutya? tukolenga kibi, kubanga amateeka si ge atufuga, wabula ekisa? Kitalo.

16 Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?

17 Naye Katonda yeebale, kubanga mwavanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo y'okuyigirizibwa gye mwaweebwa;

18 kale bwe mwaweebwa eddembe kuva mu kibi, ne mufuuka abaddu bobutuukirivu.

19 Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri wammwe: kuba nga bwe mwawagayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obuuukirivu okutukuzibwa.

20 Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri butuukirivu.

21 Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaa:ano? kubanga enkomerero yaabyo kufa.

22 Naye kaakano bwe mwaveebwa eddembe okuva mu kibi, ne nufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obuaggwaawo.

23 Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.



Essuula 7

1 Oba temumanyi, ab'oluganda (kubanga ŋŋamba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu?

2 Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.

3 Kale bwe kityo bba: bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala.

4 Bwe kityo, baganda bange, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.

5 Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe okubaliranga okufa ebibala.

6 Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, ffe tubeerenga abaddu mu buggya obw'omwoyo, so si mu nnukuta ez'edda.

7 Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Kitalo. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka: kubanga ssaadimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga:

8 naye ekibi bwe kyalaba we kiyima, ne kikolanga mu nze olw'amateeka okwegomba kwonna: kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde.

9 Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka: naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kizuukira, nange ne nfa;

10 n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi eky'okuleeta okufa:

11 kubanga ekibi, bwe kyalaba we kiyima olw'ekiragiro, ne kinnimba, ne kinzita olw'ekyo.

12 Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu, kirungi.

13 Kale ekirungi kyafuuka kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibi kirabike okuba ekibi, kubanga kye kyandeetera okufa olw'ekirungi; ekibi kiryoke kyeyongerenga okubeera ekibi olw'eki ragiro.

14 Kubanga tumanyi ng'amateeka ge g'omwoyo: naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi.

15 Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola.

16 Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza amateeka nga malungi.

17 Kale kaakano ai nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.

18 Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali.

19 Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola.

20 Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.

21 Bwe kityo ndaba etteeka nti nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi.

22 Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda:

23 naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange:

24 Nze nga ndi muritu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno?

25 Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.



Essuula 8

1 Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu

2 Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa.

3 Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri:

4 obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo.

5 Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo.

6 Kubaaga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe:

7 kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubangatekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza:

8 n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

9 Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyogwa Kristo, oyo si, wuwe.

10 Era oba aga Kristo ali'mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu.

11 Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.

12 Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja; okugobereranga omubiri:

13 kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu.

14 Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda.

15 Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe.

16 Omwoyo yennyini wamu n'omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda:

17 naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.

18 Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.

19 Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda.

20 Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti

21 era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.

22 Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.

23 Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusiada munda yaffe, nga tuliadirira okufuuka abaana, kwe kunuaulibwa kw'omubiri gwaffe.

24 Kubanga twalokoka lwa kusuubira: naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira: kubanga ani asuubira ky'alabako?

25 Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza.

26 Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubaaga tetutnanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka;

27 naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.

28 Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.

29 Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi:

30 era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.

31 Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani?

32 Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?

33 Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu:

34 ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.

35 Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?

36 Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.

37 Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.

38 Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi,

39 newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.



Essuula 9

1 Njogera amazima mu Kristo sirimba, omwoyo gwange nga guntegeereza mu Mwoyo Omutuukuvu,

2 nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutim gwange.

3 Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kya nge mu mubiri:

4 be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amatee.ka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;

5 abalina bajjajja abo, era omwava Kristo m mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna Amiina.

6 Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo Kubanga abava mu Isiraeri, si ba Baisiraeri bonna:

7 so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebav babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.

8 Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.

9 Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.

10 Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe

11 kubanga nga teba nnazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita,

12 n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto.

13 Nga bwe kyawandiikibwa ne Yakobo n'amwagala, naye Essaw n'amukyawa.

14 Kale tunaayogera tutya? Obi tali butuukirivu buli eri Katonda Kitalo.

15 Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirv ekisa.

16 Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira.

17 Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.

18 Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.

19 Kale onoŋŋamba nti Kiki ekinunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?

20 Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awatana ne Katonda? Ekibumbe kiri;amba eyakibumba nti Kiki ekya:unkoza bw'oti?

21 Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, nu kitole kimu okukola ekibya kimu :ky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensoiyi?

22 Kiki, oba nga Katonda me yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira:

23 alyoke manyise obugagga obw'ekitiibwa ye ku bibya eby'okusaasirwa, bye uteekerateekera edda ekitubwa,

24 ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu y'amawanga?

25 Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa.

26 Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange, Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu:

27 Era Isaaya ayogerera waggulu bya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omu;enyu gw'ennyanja, ekitundu ehiriigalawo kye kirirokoka:

28 kubanga Mukama alikola ekigambo ye ku nsi, ng'akituukiriza era g'akisalako.

29 Era nga Isaaya we yasooka okwogera nti Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola.

30 Kale tunaayogera tutya? Nti b'amawanga, abataagobereranga utuukirivu, baatuuka ku butuukivu, bwe butuukirivu obuva mu ukkiriza;

31 naye Isiraeri, mu ugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.

32 Lwaki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako:

33 nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.



Essuula 10

1 Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke.

2 Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.

3 Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.

4 Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza,

5 Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo.

6 Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;)

7 newakubadde nti Ani alikka emagombe? (kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.)

8 Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwako, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira:

9 kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:

10 kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.

11 Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.

12 Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira:

13 kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.

14 Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira?

15 era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi!

16 Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?

17 Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.

18 Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi.

19 Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nu Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.

20 Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.

21 Naye eri Isiraeri ayogera ati Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.



Essuula 11

1 Naye eri Isiraeri ayogera ati Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.

2 Katonda teyagoba bantu be, be yamanya edda. Oba temumanyi ebya Eriya ebyawandiikibwa bwe byogera? bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Baisiraeri nti

3 Mukama, batta bannabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nange nfisseewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.

4 Naye okuddamu kwa Katonda kumugamba kutya? Nti Nze nneefissirizzaawo abasajja kasanvu, abatafikaamiriranga Baali.

5 Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo mu kulonda okw'ekisa.

6 Naye oba nga lwa kisa, si lwa bikolwa nate: oba nga si bwe k1tyo, ekisa si kisa nate.

7 Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa:

8 nga bwe kyawandiikibwa nti Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawu!ira, okutuusa ku lunaku lwa leero.

9 Era Dawudi ayogera nti Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gye bali:

10 Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga omugongo gwabwe bulijjo.

11 Kale njogera nti Kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kitalo: naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, okubakwasa obuggya.

12 Naye oba ng'okwonoona kwabwe bwe bugagga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugagga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga nnyo?

13 Naye mbagamba mmwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange:

14 bwe ndiraba ekigambo kyonna kye ndikwasisa obuggya ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu bo.

15 Kuba oba ng'okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu?

16 Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu : era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu.

17 Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni;

18 teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe.

19 Kale onooyogera nti Amatabi kyegaava gawogolwa Me nsimbibweko.

20 Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga:

21 kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira.

22 Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa.

23 Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate.

24 Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?

25 Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka;

26 era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo:

27 Era eno ye ndagaano yange eri bo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.

28 Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja.

29 Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.

30 Kuba nga mmwe edda bwe mutaawulira Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obutawulira bw'abo,

31 bwe kityo nabo kaakati tebawulidde, olw'okusaasirwa kwammwe kaakati nabo balyoke basaasirwe.

32 Kubanga Katonda yasiba bonna mu butawulira, alyoke asaasire bonna.

33 Obuziba bw'obugagga obw'amagezi a'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika!

34 Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi?

35 oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, era eliddizibwa nate?

36 Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna Amiina.



Essuula 12

1 Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.

2 So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwe nga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.

3 Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza oku singa bwe kimugwanidde okulo wooza; naye okulowoozanga ng yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'o kukkiriza.

4 Kuba nga bwe tulin ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mu limu gumu:

5 bwe kityo ffe abang tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya banna ffe fekka na fekka.

6 oba ku weereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe;

7 obabuulirira, mu kubuulirira kwe: aga ba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu.

8 Okwagala kubeerenga kw’amazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi.

9 Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;

10 mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufi mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe;

11 musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba;

12 mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abageayi.

13 Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.

14 Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.

15 Musanyukireng wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.

16 Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu naaso gammwe mwekka.

17 Tenuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Awetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.

18 Oba nga kiinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.

19 Tenuwalananga mwekka ggwanga, baagalwa, naye waakiri musegulienga obusungu: kubanga kyavandiikibwa ati Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.

20 Naye omulabe wo bw'alumwaiga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'oryo, olinukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.

21 Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.



Essuula 13

1 Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda.

2 Awakanya obukulu kyava awa:anya okulagira hwa Katonda: era bawakana balyezzaako omusango bo bokka.

3 Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima:

4 kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga ta:watira kitala bwereere: kubanga ye nuweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.

5 Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye lwa ku lw'omwoyo gwammwe.

6 Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga baayiikirira mu mulimu ogwo.

7 Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'enpooza mpooza; ab'okutiibwa kuya; ab'ekitiibwa kitiibwa.

8 Temubeeranga na bbanja lyotaa eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.

9 Kubanga kino ati Toyendanga, ottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.

10 Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

11 Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe nuli kumpi okusinga bwe twakkiriza.

12 Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya: kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale ebyokulwanyisa eby'omusana.

13 Tutambulenga nga tuwoomye nga mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya.

14 Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.



Essuula 14

1 Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka.

2 Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva.

3 Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza.

4 Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.

5 Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.

6 Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda.

7 Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka.

8 Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.

9 Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu.

10 Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.

11 Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi liriafukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.

12 Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.

13 Kale tulemenga okusalira bannaffe emisaago nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusarigo guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.

14 Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kiutu kya muzizo mu buwangwa bwakyo : wabuta eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo.

15 Kuba oba nga mugaada wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.

16 Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa:

17 kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu:

18 Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima.

19 Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.

20 Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala.

21 Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.

22 Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima.

23 Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.



Essuula 15

1 Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.

2 Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.

3 Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.

4 Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa.

5 Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu:

6 mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu.

7 Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.

8 Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,

9 era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitubwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye`nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo.

10 Era nate syogera nti Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.

11 Era nate nti Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.

12 Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.

13 Era Kat:onda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.

14 Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, ngs muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka.

15 Naye ne yongedde okuguma katono okul wandiikira, nga kubajjukiza na olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda

16 nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulii gwa kabona, ssaddaaka y'ab'aa wanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.

17 Kale okwenyumiriza ndi nak mu Kristo Yesu mu bya Katonda.

18 Kubanga siryanijanga kwoga kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'an wanga, mu kigambo ne mu kikolwa,

19 mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri Kristo;

20 naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene;

21 naye nga bwe kya wandiikibwa nti Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera.

22 Era kyenaavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye mu;

23 naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kuban, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,

24 we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitay mmwe mumperekereko okuntuu eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe);

25 naye kaakati ŋŋenda e Yerusailemi, okuweereza abatukuvu.

26 Kubanga ab'e Makedoni n'ab Akaya baasiima okusolooleza ebint abaavu ab'omu batukuvu abali Yerusaalemi.

27 Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri.

28 Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebibala ebyo ndivaayo, okuyita ewammwe okugenda e Sipeyini.

29 Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli adijja mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.

30 Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;

31 ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu;

32 ndyoke njije gye muli n'essanyu olw'okwagala kwa Katonda, mpummulire wamu nammwe.

33 Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.



Essuula 16

1 Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, ye muweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya:

2 mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuw, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.

3 Mumulamuse Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu,

4 abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga:

5 era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.

6 Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi.

7 Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo.

8 Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe.

9 Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala.

10 Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo.

11 Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe.

12 Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe.

13 Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange.

14 Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo.

15 Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo.

16 Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza.

17 Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga: mubakubenga amabega abo.

18 Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbttto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi.

19 Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi.

20 Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

21 Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange.

22 Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.

23 Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda.

24 [24 Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu Kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.]

25 Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,

26 naye kaakati kirabise ne lutegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza;

27 Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo.



AMAZING GRACE BIBLE INSTITUTE